Ezekiel 28:1-19

Obunnabbi ku Kabaka w’e Ttuulo

1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 a“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti,

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti,
‘Ndi katonda,
era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’
songa oli muntu buntu, so si katonda,
newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
3 bOli mugezi okusinga Danyeri?
Tewali kyama kikukwekeddwa?
4 cMu magezi go ne mu kutegeera kwo
weefunidde eby’obugagga,
n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza
n’obitereka mu mawanika go.
5 dOlw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi
oyongedde okugaggawala,
era n’omutima gwo
gwenyumiririza mu byobugagga bwo.”
6 Mukama Katonda kyava ayogera nti,

“Kubanga olowooza ng’oli mugezi,
ng’oli mugezi nga katonda,
7 ekyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba,
ab’omu mawanga agasinga obukambwe,
ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go,
ne boonoona okumasamasa kwo.
8 fBalikusuula mu bunnya
n’ofiira eyo okufa okubi
wakati mu gayanja.
9Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’
mu maaso gaabo abakutta?
Oliba muntu buntu so si katonda
mu mikono gy’abo abakutta.
10 gOlifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga,
nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”
11Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 12 h“Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi
era nga watuukirira mu bulungi.
13 iWali mu Adeni,
ennimiro ya Katonda;
buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako,
sadio, topazi, alimasi, berulo,
onuku, yasipero, safiro,
ejjinja erya nnawandagala.
Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu.
Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
14 jWali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta,
nakwawula lwa nsonga eyo.
Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda,
n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.
15Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna
okuva ku lunaku lwe watondebwa,
okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
16 kMu bikolwa byo ebingi,
wajjula empisa embi,
era n’okola ebibi.
Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda,
mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga
okuva mu mayinja ag’omuliro.
17 lOmutima gwo gwalina amalala
olw’obulungi bwo,
ne weelimbalimba
olw’ekitiibwa kyo.
Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula
eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
18 mOlw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo
oyonoonye ebifo byo ebitukuvu.
Kyenava nziggya omuliro mu ggwe
ne gukusaanyaawo,
ne nkufuula evvu ku nsi
wakati mu abo bonna abaakulabanga.
19 nAmawanga gonna agaakumanya
gaatya nnyo;
otuuse ku nkomerero embi,
so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”
Copyright information for LugEEEE